Mulope abali benguzi tugirwanyise, minister.

Nga engeri eyokurwanyisa ekizibu kyenguudo embi ezibadde zifuuse baana
baliwo mu distulikiti abobuyinza mu distulikiti okuli ababaka kwosa
nabakulembeze ba disitulikiti balonze ssentebe wa akakiiko omujja nga
kino kigenderedwaamu okulwanyisa embeera eno.

Akakiiko kano katulaako ababaka okuli owa Bunya South Iddi Isabirye,
Bunya West,Bunya East, atwara abakozi (CAO), engineer,  nomubaka
omukyaala owa distulikiti Lukia Isanga Nakadama ne ssentebe wa
disitulikiti Bishop Frank Tibagendeka.

Bano mulukiiko olutudde ku kitebe kya distulikiti yeMayuge balonze
omubaka owa Bunya East James Kubeketerya okubera ssentebe wa akakiiko
kano. Kubeketerya adiide omubaka wa Bunya West Aggrey Bagiire
mubigere.

Wabura omumukya wa katikiro owokusatu (third deputy prime minister)
Right Hon Lukia Isanga Nakadama era nga yemubaka omukyala ategezeeza
nti ssentebe ono alondedwa okuba barwanyisa enguudo embi ezibadde
zifuuse emboozi ku mimwa zabantu.

Era Nakadaama mumboozi nabanamawulire asabye abantu okubeera abasaale
mukulwanyisa enguzi. Isanga ategezeeza nti enguzi yakurwanyisibwa nga
abantu balopa oyo yena aba ajjenyigiramu olwo effuke egero
olwekulakulana.

Era ono agumiza abavubi nti gavumenti tetudde kumbeera jjebalimu. Ono
abaikudde ekyaama nti gavumenti eli muntekateka eyenjawulo nga
egenderedwamu okuayambako abavubi.

Ye omubaka wa Bunya East  James Kubeketerya kyajje alondebwe
ategezeeza nti wakukora ekisoboka mukisanja kye enguudo ziterere
kiyambeko omuntu wabulijjo okusabaza ebya amaguzi okubituusa mukatale
nga tazitoweredwa.